Lyrics

LYRICS: Tambula Nange by Radio Mowzey

Share This;

The legendary Radio Mowzey ever since his death, he become more popular and his songs have been downloaded five times more than he was alive. His song Tambula Nange caught everyone’s attention and here are the lyrics of the song listen as you sing along.

Leero ndukukwasizza Katonda
Gwe eyakola byonna
N’omusana n’ogwasa
Byonna byendaba
N’ebyekwese ewala
Kasita ndi naawe asinga
Era lumu ndibizuula
Byenakwatako leero
Obisseeko omukono gwo
Ondagenga ekkubo
Ongyasize ettaala hmmm

Katonda
Tambula nange
Mpanguzaako leero nange
Katonda
Tandika nange
Nongooseza ndaga ekisa

Amaanyi g’omukwano gwo gammalemu obunafu
Mpeereza n’omuguwa
Ninnyisa amadaala
Ekiro enkuba yasuze efukirira
Emiti n’ebimuli
Eky’okulya tukisuubira
Wano wendi ndiwo ku lulwo
Amayanja emigga
Weebale kundabirira
Hmmm

By’onkolera mbisiima byonna eby’amagero
Gwe omanyi n’ekipimo
Ekirungi ekimala
Nkusobya buli lukedde ne ssikwenenyera
Gwe ng’ate bambi oyagala
Nze nneme okukwerabira
Okulwanyisa amazima kinzizizza emabega
Ntukuliza olulimi lwange
Naaliza emikono gyange hmmm

Share This;

Elijah Mutabuza

For all enquiries and breaking news, email us at timesuganda1@gmail.com The stories that you will love everyday, and all day are here at Times Uganda. Thank you

Related Articles

Back to top button