Singer turned politician Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine has released his latest song called Akatengo. As produced by Sir Dan Magic, Akatengo lyrics song is here and Bobi Wine has stressed out all his political frustrations including the killings and abductions of Ugandan youths.
Verse I
Alright, bali mu Uganda yaffe batusanga tweyagalila kuno nebajja, nebatusalako, bajja namagatto gaabwe, nobusaati obwali buyulise ku migongo, netubasembeza,
Bafela bakadde baffe netubesa netubakweeka mu kapanga, netubafilila, balya ne lumonde waffe, twali bagagga bebamalawo ente zaffe….
Babbye namataka gaffe, negyetwali twaziika abantu baffe bajja, nebabasendawo, kati bawamba baana baffe babatiisa nti buli ayogela wano amazima aba wakuffa,
Babakonye obulenge,nabamu babasse babasudde mu bitoogo, batusigamu katengo, okujjawo bino naffe tubaddize katengo…
Chorus
Abaana bawano temuba nakatengo, ekisibye enkyuuka kyuuka kekatengo, batufuga vumbula lwa katengo, nga betutya ate bebasinga okubeela nakatengo, abantu bakuno temuba nakutya, ekisibye enkyuka kyuka kwekutya, batufuga vumbula lwa kutya, nga betutya ate bebasinga okubeela nakatengo.
Verse II
Baaleta ne curfew netumugondela, nebamukozesa okutubba nokutuchunya, bajja ne mubufunda nebatuchambuwa, nga amabaala gabagagga go mwattu gakola, obutale bwawansi bwo buba buggale, nga waggulu bbo ebyaabwe biba biggule abo abaana na boda bali ku ndele, tebakya kyapa yadde okufuna ku kamere, bino biliwo lwa katengo, buno obusajja bwebutyo bwebutuzanyyila ku bwongo,
Bakadde baffe babuweeka ku migongo naye kati sebo bwo bwabafuula abayungwe, Wabula njagala, najagala mukimanye tebutusobola, bulidde ela bukusse tebwesobola, abo bemukubugana bebasinga okutya, nebwotulisa baloon baweta nebatema…
Chorus
Abaana bawano temuba nakatengo, ekisibye enkyuuka kyuuka kekatengo, batufuga vumbula lwa katengo, nga betutya ate bebasinga okubeela nakatengo,
Bridge
Well this is a special dedication to al de political prisoners, remember, it,s a Dan Magic production, you do know our nation is being mortgaged and it is we that is being used as collateral, so remember that,
Verse III
Laba obuwumbi bwebewola okulwanyisa obulwadde, bagula mamundu na tear gas, ate sente zebewoze bwetuba bakusasula, kilitwala myaaka nga kinaana, gyetukoma okutilibila, gyebakoma okunyangulula, kili mu glass nti Uganda esobolebwa, bwoba nga webase kati eno ye saawa osisimuka,
Kili mu glass nti Uganda etundibwa
Chorus
Abaana bawano temuba nakatengo, ekisibye enkyuuka kyuuka kekatengo, batufuga vumbula lwa katengo, nga betutya ate bebasinga okubeela nakatengo.
Akatengo Lyrics
RELATED STORY
Njiira (Njiila) Love Lyrics by Sheebah ft Sama Sojah